keystats/w2v-bert-2.0-luganda-main
Automatic Speech Recognition • 0.6B • Updated • 11
audio audio | transcription string |
|---|---|
Omwana wo naye ajja kubuuzibwa oba ng’akkiriza okwetaba mu kunoonyereza kuno. | |
Oluvanyuma kitaawe yagenda okulaba nga Nakasi takyassa era naamanya nti yali afudde. | |
Gavumenti erina okwongeza ku mbalirira gyewa abanoonyi b'obubuddamu. | |
Baamanyisibwa ku ndwadde z'ebisolo. | |
Omuganda alina enjogera egamba nti otunula ng'ekikutuzi ekirabye eyeeyalira. | |
Namubiru nange twali tetweddira muziro gumu. | |
Wano we ntegeeredde nti yali yanoba dda. | |
Ssente mekka ezawebbwa akakiiko akakozi? | |
Omwogezi w'ekibiina Okeler Opio bw'agambye. | |
Okulyazaamaanya obusuulu kye kimu ku bivuddeko ensimbi eziva mu kitundu ky'e Nansana okukendeera. | |
Tolowooza nti bye nkuwa bya bwereere. | |
Abawi b'obuyambi bakola kyonna ekisoboka okutuusa obuyambi butereevu eri abo ababwetaaga. | |
Kyavaako n'Abasiraamu okugajambula Omusiraamu Yasin Kakomo. | |
Nsobola okubuuka nagwo. | |
Bannamawulire basabye abazadde naddala abaami obutasuulirira baana abaliko bulemu. | |
Teweekuba bukalifuuwa obusonsomola ennyo. | |
Gumera ku birime ebirala. | |
Amalwaliro gettanidde tekinologiya aliwo okwanguya emirimu. | |
Omusajja tannaba kukwatibwa. | |
Omwandu bye bintu ebinyagibwa abatabaazi oba ebintu omusajja by’aleka. | |
Malayo olugero luno: Muzibe … | |
Nammwe mbeebaza akensuso okukeeranga. | |
Ono ye mwami Bontwe. | |
E Luweero waliyo abalimi b’ennaanansi bangi ddala. | |
Okuyita abantu ab'olubatu tewali muntu yenna yeerabiddwa naye tuluubirira okwetangira Kolona. | |
Omuwala oyo yasuusuutibwa nnyo bakadde be. | |
Etteeka eryo likola ku nnyukuta ki? | |
Olubugo oluyitibwa enkwekamagumba lwesibwa bakazi. | |
Obwamalaaya bweyongedde mu kitundu. | |
Bwe twetegereza ekikoco kino, eyakiyiiya yeetegereza bulungi nnyo ebibeera mu kyoto. | |
Bakkiriziganyizza okuteekawo omwagaanya beegeyeemu ku nsonga zino wabweru wa kkooti. | |
Kaboggoza bwe yannyonnyodde abantu abaabadde ku musomo gw'ettaka. | |
Baakowoola ab'e Kampala n'emiriraano. | |
Okutwalira amateeka mu ngalo kivumirirwa nnyo mu kitundu. | |
Buba buyitibwa ensika. | |
Bwe balaba emmotoka nga badduka. | |
Omukungu yasuubizza okwogera ku nsonga y'ebizimbe ebibi. | |
ebibiina byabannakayemba bingi ñnyo ensangi zino. | |
Simanyi oba otegeera kye ngamba. | |
Maama wo yazuukuka kiro mu ttumbi nga twebase n'abulawo. | |
Nabakooba agamba nti essira gavumenti eritadde nnyo ku kwongera okutumbula enkola ya Tekinologiya. | |
Ebikuta bya muwogo tebiriibwa bantu. | |
Oli mu nkolagana yonna ey'omukwano? | |
Kkuufulu y'ebweru erabika bulungi. | |
Naye ddala Obwakabaka weebuli oba tuli ku byoya bya nswa. | |
Liba teriri busa ng’omuko asanze Nnyazaala bw’atyo n’aswala bya kitalo. | |
Abantu era bajja kulima ebibala mu kitundu | |
Okwoleka ebitiiso, ebisanyuso, essuubi n’ebikyawe. | |
Omunoonyereza ateekwa okuba ng’ateeseteese bulungi engeri y’okuweerezaamu n’ekyokukolera ebibuuzo ebinaaba bitaanukuddwa. | |
Bo kye baali balowooza nti tekisoboka mudugavu kwogera lulimi lwabwe. | |
Kino ekitundu kuva dda kimanyiddwa ku kulima ennyaanya. | |
Abateeberezebwa abalala bakyayiggibwa. | |
Ekkanisa y'ekikatoliki ejja kuwa abasumba giraavuzi kaseera k'okubalukawo kwa Ebola. | |
Yagaana okuddamu okumuzaalira omwana omulala. | |
Abayizi abali mu bibiina eby'akamalirizo balina ekizimbe kyabwe. | |
Abantu basobola batya okulongoosa ku by'obugagga byabwe. | |
Bubonero ki obw'obukosefu? | |
Gavumenti etaddewo eteekateeka z'okukulaakulanya abavubuka. | |
Mu kuguba akirako ekiswa anti akagoye ak'omunda konna kagegedde. | |
Akanu akakadde ennyo kayitibwa Akanyoomo. | |
Uganda erina enkwatagana n'amawanga amalala. | |
Okulya mu mukwano gwo olukwe kiba kya bulyazaamaanyi | |
Kyoka abaamulabye baasigade beebuuza ku mudidi gw'ensimbi gw'alina tasobola kutoolako nnusu lukumi n'agula akawale! | |
Obwammemba bw’ekibiina ekitaba amawanga gonna ag’omu nsi. | |
Ebyange bye nnasimba byonna byamera bulungi. | |
Twebaza bonna abeetabyemu era tubakubiriza okukuuma omwoyo ogwo. | |
Katikkiro yayogedde ku kiteeso ky'okuggyawo bboodi za disitulikiti ez’ettaka | |
Abantu abeenyigira mu buli bw'enguzzi bakwatiddwa ne bawozesebwa era ne bavunaanibwa. | |
Olw'obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni obubakuumidde mu bwavu. | |
Yamugamba aggyeko nnatti emu ku mupiira gwe mmotoka ye. | |
Bulijjo nga tonnaba kwogera kigambo kyonna sooka omale okwerowooza era n'okwetegereza ky'ogenda okwogera | |
Nategeezezza omusomesa w'emizannyo nti abaana abalina talanta basomere bwereere. | |
Ensonga bw’olaba zitandiise okulanda, ng’osooka obyesonyiwa. | |
Twasangayo akapande akakubiriza abayizi okwogera Olungereza. | |
Ne tunula ku kkono ne ku ddyo naye nga wonna tebalabikako. | |
Ebyamaguzi byabwe byabulira mu kkubo. | |
Okwebaza eri ba nazirwanako abalamu abakyaweereza ensi yabwe | |
Mukama wange Mukiibi fuba olabe ng'empeera y'omulimu guno yeeyongera. | |
Wabula akulira akakiiko k'ebyokulonda mu NRM yategeezezza ng'okulonda bwe kukyatambudde obulungi mu bitundu ebisinga. | |
Kisobozese okulwanyisa obwavu mu bavubuka | |
Omutwe okufuna ensomi guba gusongodde mu kyennyi. | |
Tebaalwa ne balaba ng'obudde bubayiseeko. | |
Yawasa abakyala mwenda, n'azaala abalangira n'abambejja. | |
Omutuba bwe gumala okuyimbulwa guyitibwa gutya? | |
Omuntu gwe bagamba nti yafabukulu aba afa kikutuko nga talinaako na buyambi bwonna. | |
Kyokka n'emukazi mukulu tamumanyiiko yadde. | |
Obulwadde buno tebuva ku muntu kudda ku mulala | |
Wambwa omusiru enjala yali emulumira ku nguudo. | |
Loodimmeeya wa Kampala, asaasidde ab'enju wamu n'eggwanga lyonna olw'okuviibwako omuntu abadde ow'omugaso mu ggwanga. | |
Waliwo abalwadde abalala okuva mu sampolo ezaakungaanyiziddwa ku bifo by'eggwanga ewayingirirwa. | |
Obufumbo obw'engeri eyo bwa kaweereege nga ddya lya bukadde era ng'eddagala lya malibu! | |
Essubi eryaliriddwa ku malaalo liyitibwa Omwaliiro. | |
Embuga y'essaza lino eri Mawokota. | |
Olw’omulimu gwe yakola okusunsula ko n’okutegeka ekitabo kino. | |
Ebbanga lyetumaze tusobodde buli omu okusoma embeera za munne n'okweyiga | |
Baagala kufuna buyambi okuva eri gavumenti. | |
Omwendo gw'abaana abafuna embuto nga tebanneetuka gweyongedde mu disitulikiti. | |
Mukimanye nti ebiseera by'omumaaso ebitangaavu by'oyo afuba okweggya mu bulamu bw'alimu. | |
Kabaka w'e Buganda mu kitiibwa kye okuva edda ayitibwa Ssaabasajja. | |
Twalowooza nti essimu zigenda kubwatuka. |